Amawulire

Ababaka ba Palamenti batendereza Nnaabagereka

Ababaka ba Palamenti abakyala abeegattira mu kibiina ki  “Uganda Women Parliamentary Association”  batendereza omulimu Nnaabagereka Sylvia Nagginda gwakoze okutumbula omwana omuwala  n’abakyala mu ggwanga nga ayita mukitongole ki Nnaabagereka Development Foundation.

Bano Nnaabagereka bamusanze ku mbuga enkulu e Bulange  Mengo, mu kkakalabizo lya Maama Nnaabagereka.

Abakyala  abakuliddwamu omubaka wa Uganda mu Palamenti ya East Afirika, Margret Nantongo Zziwa era baliko engule gyebawadde Nnaabagereka Nagginda nga bamusiima olw’omulimu guno nebategeeza nti kati waliwo bingi etuukiddwako.

Bano beebazizza  Nnaabagereka olw’enteekateeka ey’Ekisaakaate gye bagamba nti eyambye nnyo okugunjula abaana mu mpisa n’obuntubulamu, naddala abawala  era kibayambye okugenda mu maaso.

Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda, asiimye nnyo engule eno era n’asaba abakyala bonna abalina obusobozi, okusitukiramu balwanyise embeera y’abakyala, okufiira mu ssanya, awamu n’okulwanirira abaana aboobuwala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top