Bya Sseryazi Herbert.
Abachina babiri ababade bagezaako okuziyiza minister w’ekikula ky’abantu n’abakozi, Betty Amongi okuyingira okwekebejja embeera embera abakozi gy’ebabayisamu bakwatidwa poliisi.
Minister Amongi ababade ku bugenyi obutali bulage mu makolero agasangibwa mu kibangilizi kya Namanve ne Mbalala era nga ono alambude amakolero okuli Tiangtang, Rosefoam, Royal Vanzaten Sunbelt n’amalala mangi.
Amakolero agasinga naddala agasanuusa ebyuuma embeera y’abakozi esangidwa mu biffo bino yenyamiza anti abakozi abasinga tebalina bikozesebwa omuli boots, gloves, ne ovulo nga abamu balabidwaako nga engoye zibayuliseeko.
Minister oluvvude e Mbalala ne ku faamu yebimuli e Nakisunga agenze buterevu ku kampuni y’abachina ekola engato eya pumps and heels, nga wano asanze akaseera akazibu okuva mu bachina abayimiride mu mulyango okuziyinza minister okuyingira nga bagamba nga bwe babade batamusubira.
Era embeera ebade y’akusika muguwa era nga wano Amongi alagide abakuumi be okukwaata bano ababiri era ne bakubwa jeeke, munda mu kolero lino nga lisinga kukozesa baana bawala, Amongi yenyamide olw’obukyaafu munda nga ne kabuyonjo zona zajjula nga amazi amakyafu gayika bweru.
Bo abakozi abakola mu makampuni gano balajanide gavumenti ebeeko kyekola ku nsonga y’omusaala ogutandikibwako, okutulugunyizibwa ku mirimu, wamu n’obutaliyilirwa nga bafunye obubenje.
‘’Tusaba gavumenti ekole ku nsonga y’omusaala okusokelwako kubanga tukola kinene ate tufuna kitono ate bwetuvayo ne twemulugunya nga batutistiisa okutugoba’’ abakozi bwe balajanye.
Betty Amongi agamba kituufu akizude nga abakozi bwe bakolera mu mbeera embi era neyenyamira abamu ku bamusiga nsimbi engeri gye beyisamu nga asinziila ku mpisa gyebamuyisizamu era nti bano bakunonyerezebwaako.
“Olaba beyisa bwebabati mu maaso gange olwo bwegutuuka ku bakozi babwe kiba kitya eno kampuni tugeenda kugisa eliiso egyogi” Amongi bw’ategezeza.
Minisita era akunze abakozi okwetanira ebibiina ebibagata “Labour Unions” nga kino kinabayamba okutwaala edoboozi lyabwe eri gavumenti awatali kwetya, kubanga akizude abakozi bangi banyigilizibwa kyoka batya okwogera kubanga batya okugobwa.