Amawulire

Abadde aguzza abalunzi eddagala lya gavumenti,akwatidwa.

Ronald Bameka 46, akulira abasawo b’ebisolo mu distukiti y’e Lyantonde era omutuuze mu Kaliro A Lyantonde Town Council y’asimbiddwa mu kkooti n’avunaanibwa.

Bameka kigambibwa nti wakati January 2, ne February 5,2021 ng’akola ne disitukiti y’e Lyantonde ng’akulira abasawo b’ebisolo, yakola ekikolwa ekikontana n’ebigendererwa bya bakama be bwe yabulankanya eddagala eryali ery’okuweebwa abalunzi ku bwereere mu bitundu ebyali birumbiddwa obulwadde bwa “Foot and mouth disease” e Lyantonde ne Kiruhura.

Kigambibwa nti obulwadde obwo bwe bwabalukawo, Bameka yaddukira mu bakulira eby’ebisolo mu ministule y’ebyobulimi Entebbe n’abategeeza era ne bamuwa eddagala.

Ono yaweebwa ddoozi z’ebisolo ezisukka 20,000 nga zaali zaakuweebwa abalunzi ku bwereere kyokka teyazanjulayo ku disitukiti era n’atandika okuliguza abalunzi.

Kigambibwa nti buli ddoozi yagitunda 500/- mu Lyantonde ne Kiruhura mu balunzi.

Ono yaakwatiddwa akakiiko aka State House Anti Corruption Unit oluvannyuma lw’okufuna okwemulugunya okuva mu balunzi.

Bameka asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Esther Asiimwe owa kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi e Kololo n’avunaanibwa okukozesa obubi ofiisi. Omusango agwegaanyi.

Omuwaabi wa gavumenti Safina Bireke ategeezezza kkooti nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso n’asaba omusango gwongerweyo.

Omuwawaabirwa asabye kkooti emuyimbule ku kakalu awoze ng’ava bweru era n’aleeta abantu be. Omulamuzi abakkirizza n’amuyimbula ku kakalu ka ssente 4,000,000/- ezoobuliwo ate abamweyimiridde n’abasaba obukadde 10 buli omu ezitali zabuliwo.

Alagiddwa okudda mu kkooti nga April 17, 2023 okuwulira okunoonyereza wekutuuse.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top