Abadde asonseka Kaamulali mu mbugo z’omwana asindikiddwa ku limanda
Omukyala Nakakande Safina myaka 27 nga mutuuze ku kyalo Manyangwa, A cell, Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso asindikiddwa ku limanda mu kkomera.
Nakakande asiimbiddwa mu kkooti ne bba Muwonge Medi myaka 56 nga naye mutuuze ku kyalo Manyangwa, A.
Mu kkooti y’omulamuzi asookerwako e Kasangati, Jackie Nangobi, Nakakande ne bba Muwonge baguddwako emisango gy’okutulugunya omwana myaka 4.
Ekikolwa ekyo, kyakolebwa nga 18, Febwali, 2024, ku kyalo Manywangwa.
Wadde omusajja yageenye emisango gyonna, omulamuzi abasindise ku limada mu kkomera e Kasangati okutuusa nga 4, March, 2024.
Omwana yatwaliddwa ku Poliisi y’e Kasangati nga yenna yabadde azimbye ffeesi, alaga nti jjajjaawe, abadde amusiiga kamulali mu bitundu by’ekyama ssaako n’okweyambisa akambe, okumusonseka mu bitundu by’ekyama.
Omwana yenna yabadde ajjudde amabwa mu bitundu by’ekyama nga n’okutambula atambula awenyera.
Mu kunoonyereza, Poliisi egamba nti maama w’omwana ng’ali ku kyeyo, abadde asindika ssente kumpi buli mwezi, ez’okulabirira omwana we.
Mu sitetimenti y’omwana ku Poliisi, agamba nti jjajja Nakakande abadde alina okumusiiga kamulali buli lunnaku kuba afuka kubuliri.
Agamba nti abadde amukuba empi ssaako n’emiggo mu kiseera ky’okumusiiga Kamulali.
Jjajja Nakakande mu sitetimenti ku Poliisi, agamba nti byonna abadde abikola okuzaamu omuzukkulu empisa era awakanyiza eby’okutulugunya omwana.
Mungeri y’emu agamba nti abadde n’omwana okuva mu Febwali, 2023.
Ku nsonga ya ffeesi okuzimba, agamba nti nga bali mu kisenge, yamukubye oluyi, omwana natomera ekitanda, nga y’emu ku nsonga lwaki amaaso, gaabadde gazimbye.