Amawulire

Abadde yeyitta omuserikale wa poliisi n’akuba abantu kiboko , ayimbulwa.

Omusajja abadde yeeyita omuserikale wa poliisi e Nateete n’akuba abantu embooko n’okubabbako ebyabwe ayimbuddwa omulamuzi Adams Byarugaba okuva mu kkomera e Luzira gy’abadde okuviira ddala mu February olw’okubulwa abamulumiriza.

Faizo Mugga 27, mutuuze w’e Nateete Kitoolo zzooni mu munisipaali y’e Lubaga y’abadde avunaaniddwa emisango gino mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo.

Kigambibwa nti, nga February 2, 2023 ono yefuula omukozi wa Gavumenti nga mu kino yeeyita omuserikale PC 67325 Faizo Mugga n’ajingirira Warranti kkaadi 48095, yakwata Silivano Muhumuza n’amukuba ssaako okumutusaako obuvune obwamanyi era bino byali ku poliisi e Nateete.

Mugga bwe yakwatibwa, omuserikale 44268 PC Geofrey Tusiime yamwaza n’amusanga n’ebintu ebiteeberezebwa okuba ebibbe nga yalina Densite z’eggwanga bbiri nga kuliko eya Brian Kyeyune ne Robert Sserwanja wamu ne ATM.

Emisango gino gyonna yagyegaana n’asindikibwa ku Limanda e Luzira gy’abadde okutuusa lw’ayimbuddwa nga tewali amuwaddeko bujulizi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top