Amawulire

Abafumbo bakubirizidwa okutuukiriza ebiragaano byebakuba

Mow’omubuga Charles Peter Mayiga asabye abafumbo okutambuliza obufumbo bwabwe ku bwerufu, obwesigwa, n’obwesimbu era batuukirize obweyamo n’ebiragaano byebakuba nga bagattibwa.

Obubaka buno Mayiga abuwadde mu kkanisa y’ Abadiventi e Bbunga ku mukolo gw’okugatta Gideon Mayanja ne mwana munne Hanifa Nakku mu bufumbo obutukuvu.

Mayiga akutidde abafumbo bulijjo okwesigangana abasabye okukuliza abaana babwe mu mbeera ez’ekiganda era nga abaganda basobole okutegeera ebya Buganda n’okukuuma ennono n’obuwangwa.

Katikkiro akinogaanyizza nti obufumbo okuva edda nedda bwa kitiibwa era nga busaanidde okukwatibwa n’ekitiibwa wakati mukusanganamu ekitiibwa n’okuwangana emirembe ssaako n’okuwuliziganya bwebuba bwakuwangaala.
Omukolo gw’okugatta abagole bano gukoleddwa akulira ekitongole ky’abavubuka ku lukiiko lwa Ssaabalabirizi w’Ekkanisa y’Abadiventi mu Uganda, Pr. Ivan Ssebaggala.

Omusumba Ssebaggala abakuutidde okubeera eky’okulabirako mu maka gaabwe, beewale ebireeta entalo n’okunenengana.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top