Ebyobusubuzi

Abagagga mu Kampala boongeza lenti abasuuuzi nebatabuka

Abagagga mu Kampala boongeza lenti abasuuuzi nebatabuka

Abasuubuzi abakolera mu bizimbe bya Kampala basattira olwa  bagagga bananyini  bizimbe okwongeza  amaduuuka  nga buli dduuka balikubisizaamu emirundi ebiri  abasubuzi kyebagambye nti embeera ebalemeredde   bizinensi bagenda kuzisulawo.

Godfrey  Katongole  ssente w’ekibiina ekigatta abasuubuzi  ekya KATA agambye nti abagagga  babefulidde  nebongeza ebizimbe  ate nga babadde bakabasasula ssente za lenti ez’emyezi  egisoba mu 4  gyebatakola nbga bali ku mugalo.

Katongole agambye nti abagagga okuli  Lubega Drake bongeza  ebizimbe  okuli Qualicel  Terminal , Pentagon , Energy Center  ekintu ekitadde  abasubuzi ku bunkenke nebagamba nti tebagenda kukirizza ku bibwa  kubanga ekiseera kino ebintu  biri waggulu    bakasitoma  tebalabika  ate kati abagaga bongeza lenti .

Bano bagambye nti  bagenda kwekalakaasa bagalewo  amaduuuka  kubanga tebalina ssente zebagenda kusasula bagagga wadde nga buli avaayo okwongera  okuwakanya  akwatibwa natwalibwa mu makomera nagulibwako emisango egy’enjawulo okuli okukuuma kuma omuliro mu basubuzi n’okwagala okwokya ebizimbe byabwe .

Abalala  bagambye nti  abagagga babataddeko bakanyama ababbega okubalemesa okuva ku bizimbe   gwebakwata nga asenguka ku kizimbe  bamuwambako ebintu bye nebabitwala ewomugagga nananyini kizimbe  ekintu  kyebakoye ,  ensonga bazitutte  bakulira  KCCA kyokka tebayambiddwa. kati bagenda kwelwanako. .

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top