Amawulire

Abagolola ebigezo by’abayizi abakola ebyemikono batandise okubangulwa.

Mu kaweefube w’okumalawo ebbula ly’emirimu mu ggwanga, ekibiina ekivunaanyizibwa ku bigezo by’emikono n’ebyobusuubuzi ekya UBTEB kitandise okubangula abagolola ebigezo by’abayizi abakola amasomo gano batuukane n’omutindo gw’ekisaawe ky’ebyemirimu mu nsi.

Bibadde Namanve ku Uganda Industrial research Institute. Jalia Nassaza nga mukungu okuva mu kitongole kya UBTEB ategeezezza nga bwe batandise kaweefube w’okwongera okubangula abagolola ebigezo by’emikono bino okulaba nga batuukana ne tekinologiya aliwo kati.

Ategeezezza nga bwe bataddewo enkola nga eno ey’okuyambako abayizi okusoma ennaku embale olwo bagende ne mu makolero basse mu nkola bye baba basomye mu kibiina.

Agamba enkola eno yaakuyambako okumalawo ebbula ly’emirimu mu ggwanga nga emisomo gino gimaze wiiki nnamba nga babangulwa mu tekinologiya ow’enjawulo.

Abamu ku bagolola ebigezo abali mu kutendekebwa kuno okuli Oliva Onanya kwosa , Anyawi George bategezeza bategeezezza nga bwe bafunye obukugu mu musomo gwe bamaze nga basoma.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top