Abagusambako wano mu ggwanga erya Uganda nga beegattira mu kibiina kyabwe ekya Uganda Ex Footballers Association ekyatandikawo omwaka oguwedde okuddaabulula ekibiina kya Uganda Ex Footballers Association ekyali kigudde mu 2012, beesomye nga bwebagenda okutuuza akulira ekibiina kya FUFA ekitwala omupiira mu Uganda Ying. Moses Magogo wamu n’obukulembeze bwe olw’okwesuulirayo ogwa naggamba obutayamba basambi bawummula.
Akakiiko kano akaliko abagusambako nga Jackson “Mia Mia” Mayanja (Pulezidenti), George Ssemwogerere, Sam Ssimbwa, Umar Senoga, Dan Walusimbi, Dan Ntale, Issa Sewanyana n’abalala bangi. Bano ssi bamativu olwa FUFA okusuulirira abagusambako ne batuuka okuvundira mu mbeera embi. Ye Jackson Mayanja Okufa kwa bagusambako nga Jimmy Kirunda, Friday Ssenyonjo, John Mandwara akuteeka ku FUFA butafa kubasambi bano ne batuuka okulwala okufa n’abamu okubeera mu mbeera ey’okuyagga ate nga FUFA erina obusobozi obubayambako nga negyebuvuddeko yafuna ensimbi okuva mu CAF ez’okuyamba ku bannabyamizannyo abagwa mu kibiina ekyo.
Mu kiseera kino abagusambako abamu bakyali mu mbeera etali nnungi nga Sula Kato atawanyizibwa ekirwadde ky’ensigo n’ekibumba, Issa Ssekatawa, Ali Ssemyalo, Obadiah Semakula wamu n’omutendesi Edriss Nyombi balina ebirwadde ebibaluma nga kw’otadde embeera etali ya mulembe.
Bano banokoddeyo n’ebirala nkumu ebiteekusa ku baagusambako, naye nga biremye FUFA okutuukiriza, nga enguzi, okweyagaliza, obukuusa, n’enteekateeka embi eremesa kiraabu okweyimirizaawo n’okusasula abasambi