Gavumenti ya Uganda etandise okubala abakozi baayo bonna okwetoloola eggwanga okusobola okubateekerateekera obulungi n’okuggyamu ab’empewo.
Mu nteekateeka eno, buli mukozi wa government alina okweyanjula eri office y’omubazi w’ebitabo bya government awandiisibwe n’okubalibwa mu buntu.
Ssabawandiisi we kibiina ekigatta abakozi ba government ki Uganda Local Government Workers Union Hassan Lwabayi Mudiba agamba nti abakozi bangi boolekedde okukosebwa enteekateeka eno olw’obutaba na ndagamuntu, ate nga n’abamu tebalina sente za ntambula okubatuusa ku office yómubazi we bitabo bya government.
Ssentebe w’e Kibiina ekya Uganda Local Government and Allied Workers Union Kato Emmanuel Batemyetto ategezezza nti bagala abakulira abakozi mu government ezébitundu bonna okuwa abakozi babwe ensimbi ez’entambula nti kubanga bangi balina okutindigga engendo okutuuka gyebalina okwewandiisiza n’okubalibwa.
Wabula Omuteesitesi omukulu mu Ministry y’ensonga z’abakozi Catherine Bitalakwate abalabudde nti baleme okuliisa ebijanjaalo empiso, nti kuba government terina gwegenda kuttira ku liiso singa alemererwa okulabikako mu buntu, gyalina okwewandiisiza.
Agambye nteekateeka eno, omukozi wa government yenna anaalemererwa okwewandiisa n’okubalibwa mu buntu wakugyibwa ku lukalala lw’abakozi abalina okusasulwa omusaala okutandika omwezi gwa July 2023.
Abakozi abaasaba okugenda mu luwummula lw’okusoma n’abalwadde balina nabo okuweereza ebibakwatako, n’oluvannyuma nga bakomyewo ku mirimu balyoke beyanjule eri office y’omubazi w’ebitabo bya government.