Amawulire

Abakrisitaayo bakubiriziddwa okufuba okwekolera.

Abakrisitaayo abakubiriziddwa okufuba okwekolera bave mukulowooza nti waliyo agenda okubakulakulanya kubanga kye ekintu ekisinga okubafula baavu.

Kitaffe mu Katonda James William Ssebaggala okukubiriza kuno akukoledde mu Busumba bwa Masamba Main mukusaba kw’okusako abaana abasoba mu 100 emikono n’okusiibula abakristaayo mubutongole mu Bussaabadiikoni bw’e Lugazi ng’ono abadde awerekeddwako Maama Tezirah Ssebaggala Nakimbugwe era nga ayaniriziddwa Omusumba Kato Fredrick Kisozi nga yakiridde Ssaabadiikoni Balamaze, Maama Harriet Balamaze, Abasumba, Mayor wa Lugazi Municipality, Ababuulizi n’abantu ba Katonda bonna.

Bishop Ssebaggala agamba nti ekizibu kya abantu mu Uganda kwe kulowooreza  mu kufuna eby’obwerere mukifo ky’okukola n’emikono n’olwekyo abawadde  amagezi okukozesa omukisa gwa Metha mukitundu  bakozesa amagezi Katonda geeyabawa basobole okwekulakulanya.

Ye Mayor we ekibuga Lugazi  Aseya asiimye omukululo Omulabirizi  gwa lese omuli Radio ebawade omukisa okuweereza abantu babwe kubanga ye Radio yoka kwe bayiita okutuusa okwogera n’abantu mu Buikwe Disitulikit.

Omusumba  wo obusumba buno Rev. Toko Robert asiimye engiri ye enkulakulana omulabirizi  gya abaletede nti bakugyefumintirizako basobole okugenda mu maaso.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top