Akulira oludda oluwabula gavumenti mu Palamenti era omubaka wa Nyendo Mukungwe, Mathias Mpuuga Nsamba yasabye Abakristu okweggyamu omuze ogwokusabiriza Abazungu batandike okwekolera ku nsonga ezibakwatako.
Bino yabyogeredde ku kisomesa kya St. Andrews Masanafu bweyabadde akulembeddemu emisinde gy’okusonda ssente ez’okumaliriza Eklezia eno.
Mpuuga yagambye nti abaliwo si beebazimba Eklezia eyasooka ng’ekiseera kituuse buli muntu mu busooboozi bwe okuwagira omulimu gw’okuzimba amasinzizo.
Yagambye nti Klezia munsi yonna bw’etuuka okufuna Abutuukirivu ebeera ekuze era ng’esobola okweyimirizaawo n’okugaba obuyambi awalala nga wano Eklezia mu Uganda yatuukawo dda.
Yawadde abakulembeze b’ekisomesa kino amagezi okulowoozo ku kyokugula ettaka mu bitundu ebirala basobole okuteekawo essomero, eddwaliro ne bizinensi ebiyinza okuyambako mu kwongera ku nyingiza y’Eklezia n’okuzimba omukristu ajjudde,
Yawaddeyo obukadde 5 mu kuwagira omulimu gw’okuzimba.
Omubaka w’ekitundu kino Abubaker Kawalya yagambye nti enteekateeka nga zino ziyamba okutumbula eby’obulamu n’okukuuma emibiri gyaffe.
Acoomedde gavumenti olwokonoona ssente y’omuwi w’omusolo mu bintu ebitayamba nga Bannayuganda bayita mu kunyigirizibwa olw’ebbeeyi y’ebintu okulinnya, ono awaddeyo obukadde 3,500,000 okuwagira enteekateeka eno.
Ssabakristu w’ekisomesa kino Ssaalongo James Lusolo yeebazizza abantu bonna abawagidde enteekateeka zino n’agamba nti balina enteekateeka gye bafunye egobererwa mu kuzimba Eklezia.
Yagambye nti ku mutendera gwe baliko beetaaga ensimbi ezisoba mu bukadde 50.
Omukolo gwetabiddwako abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okuli Mmeeya wa Lubaga Zacchy Mberaze , bakansala ab’enjawulo nga bino nabo bawagidde omulimu gw’okuzimba.