Amawulire

Abakulembeze b’e Kulambiro baweze ebyuma bya zzaala mu kitundu kyabwe .

Abakulembeze  e Kulambiro zooni V baweze ebyuma bya zzaala ku kitundu kyabwe.

Bino bibadde mu lukung’aana olw’ekitundu  kino ku poliisi y’e Kulambiro mu munisipaali y’e Nakawa ssentebe bw’abadde ayanjulira abatuuze ebyuma 9 ebyakakwatibwa wamu n’okulabula abatannakwatibwa n’abo abateekateeka okubigula obutakigeza.

Ssentebe w’ekitundu Mohammed Kigongo  n’abakulembeze baategeezezza nti okuwera ebyuma bya zzaala ku kitundu kyabwe kitaasa mugigi muto kuba gwe gusinze okubyettanira.

Kigongo yategeezezza nti zzaala afubye okukyusibwakyusibwa nga mulimu ebyuma  eby’okusuulamu ebinusu ate ne wabaawo n’eby’okuvuga nga emmotoka ku lutimbe( Ttiivi), ne wabaayo ne zzaala owedda okuli matatu ne ludo.

Agamba  abaana mu kitundu kyabwe abalina emyaka 9-15 baweeka ensawo  nga bava ewaka nga zirimu engoye endala ze banaakyusizaamu nga batuuse mu kkubo okugenda okuzannya zzaala ekintu ekifiiiriza abaana wabula ye ow’ekyuma agamba kimu nti ye ali mu bizinensi .

Kigongo yayongeddeko nti  obutabanguko mu maka bweyongedde olwa zzaala kubanga abaana babba ssente za bazadde baabwe nga n’abakyala babba ssente z’abaami baabwe ne bazitwala zizaale endala ekivaamu nga  obutabanguko mu maka.

Ye kansala w’ekitundu, Zuena Nakayemba asabye gavumenti ebage amateeka mu nnimi ennansi nga gasomerwa omuntu akiguze mu lulimi lw’ategeera asobole okwewala ensobi ezibadde zikolebwa .

Ategeezezza nti ebyuma byawerebwa mu bitundu ebirala okuli; Buliisa olw’akabi akabirimu nga nabo nga ab’e Kulambiro, si baakuttira liiso ku muntu yenna akozesa obubi ebyuma bya zzaala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top