Amawulire

Abakuuma ddembe n’abo bantu nga  mmwe, Rev Canon Kitto.

Abakuuma ddembe n’abo bantu nga  mmwe abetaaga ekigambo kya Katonda kubanga ate okusingira dda mu mirimu gyebakola ate oba bebalina okukuuma banansi n’okuteekesa amateeka  munkola.
Obubaka buno buweereddwa  Provost wa Lutikko y’Omutukuvu Fiiripo ne Andereya eMukono, The Very Rev Canon Enosi Kitto Kagodo mukusaba kw’okwebaza Katonda ate olwa abakuuma ddembe mwebakungulidde amakungula gaabwe nga bakulembeddwa Eyali KMP Afande Kafeero Moses Kabugo ne DPC wa Mukono Division Police Station, SP Nyiramahororo Annabenah n’abasirikale kumitendera egy’enjawulo.
OC Fred Kato yakulembeddemu okubuulira mukusaba kuno era nga akutidde ebitongole ebikuuma ddembe okumanya nti katonda gy’ali era n’abasaba okukola ebyo ebisikirizza Katonda  okubawa ebirungi era n’akubiriza banansi  okufuba okutekawo enkolagana na balirwana  babwe mubitundu gye babeera.
Mwogerako eri abakuuma ddembe n’abantu ba Katonda banno , Provost Kagodo agamba Abakuuma ddembe n’abo bantu nga  mmwe abetaaga ekigambo kya Katonda kubanga ate okusingira dda mu mirimu gyebakola ate oba bebalina okukuuma banansi n’okuteekesa amateeka  munkola.
Ye addumira Poliisi y’eMukono SP Anabella Nyinamahoro ategezeza abakristaayo nti buli musibe gwe balina mu kaduukulu kapolisi buli ku sande babajayo nebasinza Katonda saako n’okwebaza Katonda olw’Obulamu bwa abawadde.
Wabula ye akulira ettendekero lya Abasirikale e Bwebajja SCP Moses Kafeero Kabugo asabye bana Uganda okwenyigira ennyo mukusaba buli muntu mu nzikiriza ye ekiyambako okukendeza obumenyi bwa mateeka.
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top