Ebyobusubuzi

Abakuumaddembe Besigye bamwekangidde ku Arua Park nga yeekalakaasa ku bbeeyi y’ebintu

Eyavuganyako ku bwapulezidenti era munnakibiina ki Forum for Democratic Change (FDC), Dr. Kizza Besigye yeemuludde ku bakuumaddembe abateekebwawo okumulemesa  okuva mu makaage e Kasangati okujja mu kibuga okwekalakaasa ku bbeeyi y’ebintu eyeekanamye nga agamba nti gavumenti tekoze kimala.

Besigye akunze bannayuganda okusitukiramu balage gavumenti obutali bumativu ku bbeeyi y’ebintu eriwo mu ggwanga.

“Sigenda kukkiriza kukumiirwa mu maka gange ng’omusibe ng’abantu babonaabona mu nsi yabwe,” Besigye bw’ategeezezza bannamawulire.

Besigye asabye abakuumaddembe bamukwate era bamusimbe mu mbuga z’amateeka bweba bakakasa nti aliko omusango gwakoze naye tagenda kukomya kulwanirira bannayuganda.

Bino webijjidde nga Besigye yakwatiddwa olunaku lweggulo ku Mmande naggalirwa mu mmotoka ya poliisi okumalira ddala ekiseera oluvannyuma lw’okugezaako okwekalakaasa.

Dr. Besigye nga tanakwatibwa yasoose kutegeeza bannamawulire nga Pulezidenti Museveni bwatali mwenkanya kuba bweyazze okwogerako eri eggwanga kyeyakoze kyakusaba bannayuganda kwenyweza kyokka nga ye agenda mu maaso n’okusaasaanyizibwako ensimbi eziwera obuwumbi 2 buli lunaku obuweebwayo okulabirira amaka g’Obwapulezidenti.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top