Edith Mukisa, Ssenga abuulirira ku by’obufumbo agabye Bataata okuganza abaana baabwe oluusi kiva ku kuzaala baana be bataagala, ate abantu baseeseetuse nnyo okuva ku buntubulamu, tebakyalimu ka buntu. Omukyala genda mu maka n’ekirowoozo mu mutima nti, “Nsobola kuzaala baana bameka be nnalabirira” abo b’oba ozaala abakyala tutandike okukola tusobole okuyimirizaawo abaana. Bw’oba onoba ewa balo, toleka baana mabega. Omusajja buli lw’asiganza abaana afuna endowooza endala oba obusungu n’abumalira ku baana b’omulekedde ng’abakabawaza. Tuddeyo ku nnono yaffe, tufumbirwe abasajja nga tubeetegerezza, abazadde mwawule ebisenge by’abaana abawala na balenzi, ebiseera ebisinga singa omulenzi yebaaka ku muganda we mu buto, kimukuliramu ne bwatuka ku baana be ne kivaayo. Mkomye okwesiga abasajja, wadde nga si bnna nti, babikola, naye tomanya wa mutima mukyamu.