Amawulire

Abalimi ba vanilla batandise amakungula agasoose mu mwaka.

Abalimi ba Vanilla okwetoloola ebitundu bya Uganda ebyenjawulo batandise okukungula ekirime kya Vanilla, mu makungula agasookedde ddala omwaka guno.

Abalimi baali bakutandika okukungula vanilla mu makati g’omwezi oguwedde ogwa December, wabula Ministry y’ebyobulimi n’ebalagira okugira nga balinzeeko olw’embeera y’obudde eyalimu enkuba ennyingi, n’okwewala okukungula vanilla atakuze bulungi.

Minister  avunanyizibwa ku by’obulimi  , obulunzi n’obuvubi Maj Kyakulaga Fred Bwino agamba nti  obubbi  n’okutunda vanilla atanakula kyabulabe, era kikosa akatale ka vanilla wa Uganda.

Uganda ekwata ekifo kya 7 munsi yonna okutunda vanilla , ng’esinga kumutunda mu  Canada, Japan, America  nga asinga kulimibwa  mu Buganda, Busoga ,Bundibugyo nebibitundu ebirala

Madagascar lye ggwanga erisinga   okulima vanilla, endala ye Mexico , Indonesia  ne China.

Vanilla asinga kussibwe mu mmere, eddagala n’ebirala

Vanilla wattunzi, era nga mu kiseera kino buli kkiro egulibwa  wakati wa shs emitwalo 40,000/= ne 50,000=

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top