Amawulire

Abalondoola abavudde mu bbanka ne babanyaga ssente – bakwatidwa.

Poliisi ekutte ababbi abali mu kabinja akalondoola abantu abava mu bbanka ne ssente ne bazibabbako oluvannyuma lw’okumenya mmotoka zaabwe mu bifo we babeera bazisimbye okubaako bye bakola.

Okukwata ababbi bano kiddiridde poliisi ya Old Kampala okufuna okwemulugunya mu bantu ab’enjawulo nga bonna bagitegeeza nga mmotoka zaabwe bwe zimenyeddwa ababbi n’ebatwala ebintu byabwe naddala ssente ze baba baakajja mu bbanka

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti ababbi abali mu kabinja kano abakwatiddwa kuliko Abubaker Kato ng’ono abadde yeeyita Derrick Kigozi , Alex Muhumuza nga yeeyita Isaac Nuwagaba ne Musa Mulera  eyeeyita Muzamiru. Bano okubakwata kyaddiridde abantu okubasanga nga baliko mmotoka gye baabadde bagezaako okumenya.

Yagambye nti bano baabadde baakatusibwa ku poliisi ne wabaawo  omusajja Hassan Mutyaba eyakolerako mu Flying Squad  eyabadde aperereza abaserikale bayimbule ababbi bano kyokka naye n’akwatibwa.

Yategeezezza nti poliisi ya Old Kampala yafuna okwemulugunya okuva ewa Joseph Kiggundu nga bwe waaliwo ababbi abaamenya mmotoka ye e Kabuusu ne babbamu obukadde 27  nga November 3, 2022 wabula nga April 17, 2023  abantu baabulijjo ne bakwattira e Mengo.

We baakwatidde ababbi bano nga poliisi ya Old Kampala yakaggulawo fayiro ttaano nga zonna zaakumenya mmotoka ne babbmu ssente. Omugatte baakabba obukadde 122 kyokka nga wakyaliyo n’abalala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top