Abalumbaganyi abatanategerekeka balumbye ekkolero lya sukaali erya Luzinga sugar factory mu gombolola ye Wankole e Kamuli, banyaze obukadde bwe nsimbi obusukka mu 200.
Kigambibwa nti abazigu batadde omukuumi w’ekkolero ku nninga nebamulagira abatwale munda ewo muyindi atereka sente.
Oluyingidde nebateeka omuyindi ku mudumu gwe mundu nebamusaba sente zeyabadde nazo, nagezaako okugaana, kwekumukuba essasi mu mukono, olwo nebasikayo akabokisi omubadde sente.
Bwebafulumye ebweru n’omunyago gwabwe, kwekutandika okuwandagaza amasasi mu bbanga nebabulawo ne kavu.
Sentebe we gombolola eno Wankona George agambye nti bawulidde masasi bagenze okutuuka ng’omuyindi bamusesebbudde omukono.
Police e Kamuli ebakanye nokuyigga bakyala kimpadde ababbye sente ze kkolero lya sukaali.