Amawulire

Abalumbaganyi balumbye Poliisi ye Nakulabye nga baagala kubba mmundu.

Poliisi ye Nakulabye mu Kampala ewanyisiganyiza amasasi n’Abalumbaganyi ababadde bagezaako okugirumba nga kigambibwa babadde baagala kubba mmundu.

Ebiriwo biraga nti bano balumbye ku ssaawa 10 ez’ekiro mu kiro ekikeesezza Olwokusatu naye abasirikale ababadde nga bakuuma nebabakubamu amasasi era nebadduka.

“Omu ku balumbaganyi bano yaggyidde mu nzikiza nagezaako okusemberera Poliisi ya Nakulabye Police  Station. Omu ku basirikale baffe ababadde bakuuma nakuba amasasi bwatyo nadduka. Olukwe lwabwe lwagudde butaka kuba Omusirikale waffe yabadde mugumu nabatwalaganya,” Omu ku bakulu bw’ategeezezza omukutu guno.

Ono agasseeko nti mu kudduka omulumbaganyi yasudde magazine y’amasasi era kino amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirilaano Luke Owoyesigire akikakasizza .

Okusinziira ku Owoyesigire, banyunguliddewo  abanoonyereza n’embwa ezikonga olusu naye tebategedde balumbaganyi webakutte wabula okunoonyereza ku nsonga eno kutandikiddewo nga beeyambisa kkamera ezateekebwa ku nguudo okuzuula abakola ebikolwa bino n’ebigendererwa byabwe.

Owoyesigire yeebazizza abapoliisi ababadde bakuuma poliisi eno olw’obuvumu bwebayolesezza.

Bino webijjidde nga waliwo abalumbaganyi abatamanyika abagenda mu maaso  n’okulumba ab’ebyokwerinda nga babatwalako emmundu zaaabwe.

Mu wiiki eno waliwo Asikaali eyalumbiddwa e Magere Kasangati nebamutwalako emmundu oluvannyuma lw’okumutema awamu n’okumukuba era nga nabo tebamanyiddwa wadde ebigendererwa byabwe.

Era ku ntandikwa y’omwezi guno bano balumba poliisi ye Busiika e Luweero ku ssaawa emu eyakawungeezi. Abeerabirako bagamba nti bano abali wakati w’omukaaga n’omusanvu olwatuuka mu ttawuni nebalagira abatuuze okuggala amaduuka gaabwe olwo nebalumba poliisi.

Bano era bazzeemu okulumba egimu ku misanvu gy’oyitako okutuuka ku mulyango gwa Balakisi ya UPDF eya Gaddafi mu Jinja nebatta omujaasi eyabaddewo era nebatwala emmundu ye neya munne eyali agenze ku dduuka okubaako byagula.

Oluvannyuma lw’okusalako ekitundu kino, abebyokwerinda baliko omusajja gwebakwata awamu n’omujaasi ono eyali agenze ku dduuka bayambeko mu kunooonyereza.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top