Amawulire

Ab’Amerika abaakwatibwa ku by’okutulugunya omwana gavumenti ebongeddeko omusango omulala.

Omwami n’omukyala nga bafumbo okuva mu ggwanga ly’America abaasibwa mu kkomera e Luzira ku musango gw’okutulugunya omwana munnayuganda, gavumenti ebongeddeko omusango omulala ogw’okumukukusa.

Nicholas Spencer ne mukyala we Mackeinzie Leing Mathias Spencer leero babadde n’essuubi mu mulamuzi wa kkooti ya Uganda Road Sarah Tushabe nti agenda kusalawo obanga beeyimirirwa kyokka kibabuseeko nga babongeddeko omusango omulala ogw’okukusa omwana kkooti ento gwetalinaako buyinza era omulamuzi Tushabe kwekubategeeza nti kkooti enkulu yejja okuwulira okusaba kwabwe okw’okweyimirirwa.

Bano baakwatibwa ku bigambibwa nti babadde batulugunya omwana John Kayima 10 gwe baawanga ebibonerezo ebikakali poliisi mu kunoonyereza kwekuzuula omusango omulala ogw’okukusa omwana ono.

Kigambibwa nti Spencer ne munne  wakati wa December 2020 okutuuka December 2022 e Naguru ekisangibwa mu Kampala disitulikiti batwala Kayima nga beeyambisa eky’okubeera nti yali yetaaga obuyambi  nga kyokka ekigendererwa kyabwe kyali kya muyisa bubi.

Omuwaabi wa gavumenti Joan Keko ategeezezza kkooti nti okunoonyereza ku misango emirala kukyagenda mu maaso era n’asaba bazzibweyo mu kkomera okutuusa nga January 13, 2023 omulamuzi Tushabe nakkiriza

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top