Mu nnaku ttaano eziyise, aamaato ataano (5) gabbidde mu nnyanja eno okuliraana ekibuga ky’e Sfax, ng’obubenje buno bulese abantu 67 nga tebalabikako n’abalala mwenda nga bafudde nga bagezaako okugenda mu ggwanga lya Italy.
Tunisia ly’eggwanga eribadde lisinga okutwala abantu mu Bulaaya naddala mu Italy, abantu bangi gye baddukira okufuna emirimu n’okuva mu bwavu obukudde ejjembe mu nsi za Africa.
Akabenje akaasembyeyo kaaguddewo ku Ssande omwafiiridde abantu 19. Kino we kijjidde nga Tunisia enyiinyiitizza kaweefube w’abantu abayingira mu ggwanga eryo n’ekigendererwa eky’okuyitirayo okugenda e Bulaaya ng’abasoba mu 3,000 be babadde baakakwatibwa.
Ekibiina ky’amawanga amagatte kya United Nations,UN kyakoze okunoonyereza okulaga nti abantu 12,000 be beesozze Italy okuva mu January w’omwaka guno bw’ogeraageranya ku abo 1,300 abaagendayo mu mwaka oguwedde ogwa 2022.