Amawulire

Abantu 3 bafiiridde mu kabenje ku lwe Ssemuto.

Abantu 3 okuli owa boda 1 nabasaabaze 2 bafiiriddewo mbulaga mu kabenje akagudde ku Ssemuto road mu kabuga ke Gombe  mu Wakiso district, taxi ebadde ewenyuuka obuweewo ebasaabadde.

Abagenzi ye Alex Kimuli wa myaka 26 abadde mugoba wa Boda Boda ku stage ye Matugga-Mabanda Naye nga mutuuze ku kyalo Mwereerwe mu Wakiso district.

Abasaabaze abafudde kubaddeko omuwala Mukiriza Milly myaka 24 abadde wa mobile money e Kawanda, n’omusajja Mugabi Charles myaka 30, nga mutuuze mu Mukono district, babadde batambulira ku piki piki  No.UFS 424W babadde bava Kavule nga badda  Matugga.

Ababaddewo bagamba nti owa bodaboda  abadde agezaako okuyisa ekimotoka ekimubadde mu maaso eby’embi kwekwambalagana ne Taxi No.UAD 351G ebadde ettisse abasaabaze ng’eva Kampala edda Semuto.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top