Amawulire

Abantu 30 bebagenda  okuvuganya ku bifo byóbukulembeze mu FDC.

Abantu 30 be bakimye foomu z’okwesimbawo okuvuganya ku bifo by’obukulembeze 38 eby’oku ntikko ebiriwo mu kibiina kya Forum for Democratic Change.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina e Najjanankumbi, Ssentebe w’akakiiko ak’ebyokulonda mu FDC, Boniface Bamwenda agambye nti abantu 19 be bakima empapula ku lwokutaano lwa ssabiiti ewedde.

Songa ate weziweredde ssaawa 6 entuntu lyaleero, abantu 30 bebabadde bakagyayo foomu nga nsalesale wa lunaku lwankya.

Agasseeko nti enteekateeka eno yakugenda mu maaso n’okusunsula abesimbyewo nga bakomezaawo era nga balina okujja ne biwandiiko byóbuyigirize ate nga basasudde ensimbi ezokwesimbawo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top