Amawulire

Abantu 8 bakwatiddwa ku by’okutta Sobbi.

 

Ebitongole byokwerinda e Gomba bikutte abantu 8 okuyambako mu kunoonyereza ku by’okutta Paddy Sserunjogi amanyikiddwa nga Sobbi eyatiddwa ku Mmande.

Sobbi yattiddwa ku kyalo Kibaale mu ggoombolola y’e Maddu mu disitulikiti y’e Gomba ku Mmande nga 18, December, 2023.

Okunoonyereza kulaga nti ku ttaka ly’omutuuze Kalisa ku kyalo Kibaale, waliwo ekibiinja ky’abantu ekyalumbye ekibinja ekirala nga ekiri 50, nga bakutte emiggo, ebiso, amayinja, amafumu, ekyavuddeko Sobbi, okuttibwa.

Ettaka, eryavuddeko obuzibu, kujjudde enkayana nga kigambibwa omugagga Kalisa, yaligula mu 2007 obukadde 100, nawaayo obukadde 20 kyokka kigambibwa yaligula ku muntu mukyamu.

Wabula abaana b’omugenzi Kibi Paul ssaako n’abazukkulu nga bakulembeddwamu Deborah Nagadiya ssaako ne Kiwewa Barton, balemeddeko nti ettaka lyabwe era balina ebiwandiiko byonna okuli ebyapa, ebiraga nti ettaka likyali lyabwe.

Kigambibwa Sobbi, yabadde akulembeddemu akabinja k’abantu okuva mu Kisenyi – Kampala, ne badda mu kutematema emmere, okwonoona ebintu, ebizimbe, ekyavuddeko abatuuze okutabuka ssaako n’abaana b’omugenzi Kibi, okubalumba nga n’abo bakutte ejjambiya, amayinja n’emiggo.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Katonga, Majid Karim, Sobbi yattiddwa nga yatemeddwa ebiso ku mutwe, obulago ssaako n’amagulu era yakubiddwa nnyo emiggo ye ne banne.

Yaziikiddwa olunnaku olw’eggulo e Masaka.

Wabula RDC we Gomba, Harriet Nakamya agamba nti mu kunoonyereza, bakutte abantu 8.

Abakwate bali ku Poliisi y’e Kinoni nga bali ku misango gy’okwenyigira mu kutta Sobbi n’okulumya abantu abalala.

RDC Nakamya era agamba nti bagenda kutwalibwa mu kkooti amangu ddala nga Poliisi efundikidde okunoonyereza.

Agamba nti ettaka okwavudde Sobbi okuttibwa, Poliisi eyongedde okunyweza ebyokwerinda, okutangira embeera y’emu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top