Amaggye ga UPDF mu butongole gawaddeyo bannaKenya 6 abaakwatibwa n’emmundu nga bayingidde mu Uganda ne kigendererwa okunyagulula ente mu bitundu bye Karamojja.
Aba Turkana bano 6 baakwatibwa ne mundu zabwe mu bikwekweto ebyakolebwa wakati w’ennaku zómwezi 20th –26th February,2023 mu District ye Moroto.
Brig Gen Felix Busizoori amyuka omuduumizi wa Maggye ga UPDF ekibinja ekyókusatu, yakulembeddemu okuwaayo abakwata mundu bano eri Peter Eripete omuwandiisi w’essaza lya Turkana era akulira government ez’ebitundu mu Kenya.
Babawaddeyo ku mukolo ogubadde mu Nkambi ya Maggye e Moroto, wabula UPDF yakusigala nga yekebejja emundu 4 ezaakwatibwa nábantu bano okutuusa nga ezudde kalonda yenna azikwatako.
Amyuuka Omwogezi wa Maggye ga UPDF Col Deo Akiiki ategezezza nti abanyazi bano babadde banoonyezebwa mu Kenya bavunaanibwe, oluvanyuma lwókuleka nga nayo banyazeeyo ebisolo.
Omwogezi wa Maggye ga UPDF ekibinja ekyókusatu Maj James Oware agambye nti UPDF yakwongera okufeffetta ebitundu bye Karamojja okufuuza abakwata mundu bonna naddala abo abasala ensalo okuva mu mawanga amalala.