Minisitule y’eby’entambula n’emirimu mu ggwanga ejjukiza abavuzi ba boda boda ku mateeka go ku nguudo naddala ery’okwambala ekikooffiira kyo ku mutwe (Helmet) eri omuvuzi n’omusaabaze.
Micheal Kamoga avunanyizibwa ku by’obutebenkevu ku nguudo mu Minisitule y’eby’entambula agambye nti amateeka agafuga enkozesa y’enguudo agaliwo gakirambika bulungi nti buli muvuzi wa pikipiki n’omusabaaze gw’abawa aweese, atekeddwa okwambala ekikoffiira kyo ku mutwe oba Helmet ekirina okubakuuma buli lwebafuna obubenje
Micheal Kamoga abadde mu musomo ab’ekitongole ky’obwakyeewa ekirafuubanira okukendeeza obubenje ku nguudo ekya safe Way Right Way, gwebategese okusomesa abavuzi ba boda boda abakolera mu ggombolola ye Kawempe, ebikwata ku mutindo gwa Helmet gwebalina okwambala n’omugaso oguli mu kuzaambala.
Omusomo gubadde ku St Peters Church e Wandegeya.
Mu mbeera yemu Micheal Kamoga era alabudde abavuzi ba pikipiki okukomya omuze gw’okuvuga pikipiki nga bambadde engatto ezitabikka biggere naddala ezaakazibwako erya nnigiina nti zimenya mateeka.
ASP Ssekajja Godfrey adduumira police y’ebidduka e Kawempe agambye nti bagala Minisitule y’eby’entambula okuyisa ekiragiro nti pikipiki zonna empya ezifuluma, zitundibwe nga ziriko First Aid Kit oba akasawo akabaamu ebintu byebayinza okukozesa okuwa obujanjabi obusookerwako eri abantu ababa bagudde ku bubenje.
ASP Ssekajja Godfrey era alabudde abakulembeze ba boda boda okukomya okweyisa ng’ abasirikale ba poliisi, nga bogera n’abasirikale ba police y’ebidduka ababeera ku bikwekweto eby’okukwata abavuzi ba pikipiki abatalina bisaanyizo.
Suzan Tumuheirwe nga ye Program Coordinator mu Kitongole kya Safe Way Right Way agambye nti baakizuula nti abavuzi ba pikipiki naddala aba boda boda abasinga tebamanyi nkozesa ya nguudo esaanidde naddala okwambala Helmet okutaasa obulamu singa akabenje kabeera kagudde.