Abasawo abakyagezesebwa abegattira mu kibiina kyabwe ki Federation of Uganda Medical Interns, (FUMI),bayimirizza akeddiimo kabwe akamaze ennaku 10.
Abasawo bano baali bateeka wansi ebikola nga ennaku z’omwezi 7 omwezi guno ogwa November,, nga beemulugunya kukyobutasasulwa ssente zabwe ez’emisaala za myezi ebiri, okuli ensimbi za September, ne October, so ng’abamu tebafuna musaala mutuufu gwebalina kufuna, kko n’ensonga y’obutawebwa kyamisana.
Dr. Lumumba Musa El-Noor, president wabasawo bano, ategezezza nti oluvanyuma lw’ensisinkano n’abakulu abatali bamu mu government, baakanyizza okuggyawo akeedimo kaabwe okutandika n’enkya ya leero.
Dr. Lumumba agamba nti ensonga z’abasawo abazaalisa n’abajjanjabi obutawebwa musaala gusaanidde, baasubiziddwa okusigala nga boogereganya ne government mu bbanga lya nnaku 60, okujigonjoola.