Amawulire

Abasawo bekinansi balumbye bannadiini abebbirira ne bazaala mubakabasajjja

Abasawo bekinansi balumbye bannadiini abebbirira ne bazaala mubakabasajjja

Akulira enzikiriza y’obuwangwa n’enono  (Tondisim Faith)Jjumba Lubowa Aligaweesa avuddeyo n’atabukira bannadiini abebbirira ne benda ku bakazi, ate oluvannyuma ne bagana okubawa obuyambi ate n’ababasuulawo nga bamaze okubakozesa, n’ategeeza nga kino bwe kitta ekitiibwa abantu Kye babawa.

Jjumba yategezezza SSEKANOLYA nti munnadiini abeera muntu mwawufu nnyo kubantu abalala era alina okubeera eky’okulabirako eri abantu bonna naddala bebawereza, naye abamu ekitiibwa ekyo bakisse nga benyigira mubikolwa byobwenzi era abantu tebakyabassamu Kitiibwa.

Ono era alumbye eyali Ssabalabirizi wa Uganda Stanley Ntagali eyazala omwana mu Judith Tukamuhabwa kyokka n’agaana okumuwa obuyambi nga kati ensonga ziri mu kooti. Ono era alumbye ne Faaza we Masaka Thomas Bakulumpagi akolera e Bungereza, alumirizibwa omuwala Prossy Nakayiza nti yamwagala kyokka oluvannyuma n’amwwkyangirako ne kalina gye yali amuzimbidde n’agimugyako.

Ssabakabona Jjumba era agamba nti ebikolwa byabannadiini bino biswaza era biwa ekifaananyi ekibi eri abantu be basuumba, nga kyandibaddd Kirungi ne bayimirizibwa. Ono yagambye nti paapa yandibadde akyuusa mu biragiro eri ba faaza n’abakiriza okuwasa mubutongole kuba bangi bebbirira ate oluvannyuma ne bitegerekeka, ekintu ekissse ennyo ekitiibwa ky’eklezia.

Bannadiini bangi bazze baswazibwa mu mawulire abamu nga balemereddwa okutuukiriza obuvunsnyizibwa bwabwe eri abo be baganza ne babazalamu era bangi bawumuziddwa ku mirimu gy’obuwereza.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top