Amawulire

Abasibe 3 basimattuse okuffa!.

 

Abasibe basatu bali mu kuweebwa bujjanjabi mu ddwaaliro ly’amakomera e Mityana, oluvannyuma lwa bbbaasi mwe baabadde batambulira okufuna akabenje ne balumizibwa.

Akabenja kano kaabaddewo eggulo, loole ekika kya Tata nnamba UAV  066X eyabadde yeetisse enduli z’emiti , bwe yalemeredde ddereeva waayo n’eyingirira Bus omwabadde mutambulira abasibe bano nga bava ku kkooti ,  nnamba UG 0344U abasatu ne balumizibwa mu kibuga Mityana.

Omwogezi w’ekitongole ky’amakomera Frank Mayanja Baine agambye omusango bw’agukwasizza poliisi y’ebidduka ekyagenda mu maaso n’okunoonyereza ekyavuddeko akabenje kano.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top