Amawulire

Abasiraamu balumbye Gavumenti ku kusiba abantu mu makomera awatali nsonga.

Jajja w’obusiraamu omulangira Kasim Nakibinge akubirizza abasiraamu okusigala nga bwe babadde mu kisiibo. Wano wavudde n’akungubagira banne abafudde omwaka guno  okuli Sheik Nuhu Muzaata Batte, Dr Anas  Kaliisa,  Musa Katongole eyali owa UTODA ne yali Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga.

Nakibinge alabudde abantu okukomya eby’obufuzi batunule mu bintu kati ebibagasa era ebibatwala mu maaso beesonyiwe eby’obufuzi kubanga byawedde, mu ngeri yeemu asabye abalina obuyinza mu Ggwanga okuta buli muntu eyakwatibwa ku nsonga z’ebyobufuzi kubanga buli muntu alina kyawagira.

Kizibu okukaka omuntu okuwagira kyatayagala kubanga buli muntu alina kyayagala n’asaba bonna abasibibwa bateebwe baddeyo bakole emirimu gyabwe kubanga tebalina musango. Bino abyogeredde mu makaage agasangibwa e Kibuli mu kusiibulula abasiraamu mu kujjaguza Eid Al-fitr nga omukolo gwetabiddwako bannabyabufuzi okuli loodi meeya wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago ne bikonge ebirala

Avumiridde ku ky’abakuumaddembe abakuba bannamawulire emiggo n’abasaba okuwa omulimu gw’amawulire ekitiibwa kubanga nabo babeera ku mirimu gyabwe.

Asabye abantu okusigala nga beekuuma ekirwadde kya Covid 19 kubanga ekirwadde kikyaliwo era kisse abantu bangi ab’omuwendo mu Uganda n’okwetoloola ensi yonna era y’ensonga lwaki naye enamba y’abantu baakyaza ewuwe yajikeendeeza bwaba abayita okwetaba ku mikolo. Omulangira Nakibinge akubirizza gavumenti okussa eddagala mu malwaliro kubanga eby’obulamu bikwata ku buli muntu.

Ate omukulembeze w’abayisiraamu ku kitebe ekikulu e Kampala mukadde Mufuti Shaban Ramathan Mubaje asabye omukulembeze w’e Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni okwekuba mu kifuba ayimbule abasibe bonna abaakwatibwa ku nsonga z’ebyobufuzi mu kulonda okwaggwa, kyagambye nti kino kijja kuzza emmeeme z’abantu baabwe mu nteeko nga balabye ku baana baabwe nga balamu.

Okwogera bino Mubaje abadde akulembeddemu okusaala Eid Elfitr oluvannyuma lwa b’enzikiriza ye kiyisiraamu okumalako ekisiibo ekikulungudde ennaku 30 nga beegayirira Katonda mu ngeri ezitali zimu.

Mu kwogera kwe asoose kuyozaayoza omukulembeze w’e Ggwanga olw’okulayira okwawedde ku lw’okusatu, era n’amusaba akwatirwe ekisa abasibe abali mu makomera olw’ensonga z’ebyokulonda abayimbule kyagambye nti kigenda kuyamba okukkakkanya embeera ye mitima gyabazadde baabwe egyewanise mu kiseera kino.

Ono era yebazizza abantu bonna baayise ab’omutima omulungi abadduukiridde abayisiraamu mu kiseera kye kisiibo kino n’asaba Mukama abaddizeewo kubanga okulabirira abanaku Katonda akw’okongera empeera buli kadde.

“Omulundi guno tufunye obuyambi bungi nnyo okuva mu bannaffe n’amakkampuni ag’enjawulo, ekituwadde essanyu kubanga abantu baffe abanaku bangi abaganyuddwa mu nteekateeka eno mu kiseera kino eky’ekisiibo” Mubaje bwagambye

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top