Abasiraamu balabuddde aberabira Famire y’omugenzi Nuhu Muzaata Bate ate nga yakola nnyo okuzimba obusiiramu kyokka abamu bwebavaayo okuyimilira ne Famire ate balwanyisa nebabateeka mu ntalo z’obusiraamu ate nga mu kiseera kino Muzaata weyetagira esaala zabwe gyali mu ntaamna kubanga takyalina kyasobola kwekola okugyako okumulombera edduwa .
Bino byigereddwa Shekie Ssekimwanyi abyogeredde mudduwa eyategekeddwa namwandu wa Muzaata Kuluthum Nabunya muka g’omungezi Nuhu Muzaata Batte e Kawempe ketifalawo nayambalira abasiraamu abeyawudde ku Famire ya Muzaata nti kyebaakola kikyamu kubanga Muzaata yalwanilira nnyo obusiiramu ng’ayita mu kuzimba emizikiti n’okubulira yilimu y’obusiraamu ebyaleta enjawulo mu diini y’obisiraamu kubanga abantu bangi basiramuka olw’okubulilira kwa Muzaata.
Agambye nti omugenzi Muzaata yakolera obusiiramu teyebakanga yatuuuza abasiiramu bangi nagonjoola ebizibu byabwe nga bantu basaanye bamujjukira nga bamulombera edduwa.
Mukyala Muzata Kuluthum Muzaata yakulusizza amaziga bwabadde ayogerako eri abasiraamu abetabye ku dduwa akabye bwabadde ayogera ku birungi baawe omungezi Muzaata byeyamukolera ng’akyali mulamwa wadde nga yafuna omusajja omupya Akram Gumisirizza nagamba nti wadde yafuna obugumbo obupya naye buli wajjukira omukwano gwebalina n’omungezi muzaata awulira ennaku kubanga omungezi yamufuna mwana muto ebiseera ebisinga yabimala naye nga kati kyasigaza okumukolera kwekumulombera dduwa.
Yebazizza aba Famire ya Muzaata abasobodde okuyimikirawo naye muntalo zayiseemu omulimu okumulemesa amaka n’ebintu omungezi byeyaleka kubanga bailiko entalo.