Minista omubeezi ow’amatendekero agawaggulu JC. Muyingo alabudde amasomero n’abasomesa abebbirira ne basomesa abayizi gavumenti betannakiriza kusomesa, n’ategeeza ng’ekitongole ky’ebyenjigiriza bwe kitaddewo bambega abagenda okukiyambako okulondoola amasomero n’abasomesa abo abebbirira ne basomesa nategeeza nti, essomero n’abasomesa bonna abanakwatibwa, ebbaluwa zabwe ez’obusomesa zigenda kusazibwamu olw’okunyomola ebiragiro bya gavumenti.
Muyingo agamba nti olw’okuba abasomesa n’amasomero gano babeera bebirira okusomesa, abayizi n’abasomesa tebagoberera mateeka ga minisitule y’abyabulamu omuli okukuuma amabanga, okunaba mungalo n’okuteekako mmasiki, kale nga kino kiyinza okuvirako okusasana kw’ekirwadde kya covid-19 mubaana abato, era kye kiviriddeko ekitongole okuteekawo ekibonerezo ekikakali eri abo abanakwatibwa. Ono yategezezza ng’ekitongole ky’ebyenjigiriza bwe kigenda okwogerezeganya n’ekitongole ky’ebyobulamu okulaba oba waliwo entekateka yonna ey’okugema abaana naddala aba Nassale.
Minista muyingo yagumizza abazadde ababadde balowiooza nti gavumenti yagyawo yeyambisa covid-19 okusobola okugyawo Nnassale, n’ategeeza nti gavumenti tesobola kugyawo kusoma kwa Nnassale kubanga yensibuko y’ebyenjigiriza, lwakuba nti obwana obuto obwo Nnassale tosobola kubugamba nti butekeko mmask,era kizibu okubulondoola okulaba oba bunnaabye mungalo ate nga nabwo tebusobola kukuuma mabanga nga buli kussomero, kale ebyo bitukalubiriza okuggulawo ebibiina bya Nnassale.
Mungeri yemu Minista Muyingo yennyamidde olw’abazadde abakyuusa abaana babwe ne babatwala mu masomero amalala, nga babakyusizza amasomero,n’ategeeza ng’abaana abo bwe bakalubizibwa mu bibiina gye babeera batwaliddwa olw’okuba ebintu ebimu babeera tebabisoma.