Abasuubuzi ba Minzani mu kikuubo baagala minisita w’ebyobusubuzi n’amakolero okubayamba oluvannyuma olw’okuvaayo ne balaga obutali bumativu bwabwe olw’ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo mu ggwanga ki Uganda National Bureau of Standards (UNBS) okumala ebbanga nga tekissa sitampu ku minzaani zaabwe.
Bano nga bakulembeddwa Meddy Ssengendo ne Charles Katunda bategeezezza nti okumala ebbanga lya wiiki ezisoba mu bbiri ekitongole ki UNBS tekikubanga sitampu ku minzani zaabwe ekintu ekisibye emirimu gyabwe olw’obutasobola kutunda minzaani zitalina sitampu.
Abasubuzi bategeezeza nti bulijjo Minzaani bazitwala ku kitebe kya UNBS ekisangibwa e Katwe ne babaterako sitampu oluvannyuma lw’okuzekenneenya kyoka kati oluzitwalayo babalagira bulagizi okuzizzaayo ne babategeeza nga bwe batalina sitampu.
Ssemambo yategeezezza nti etteeka teribakkiriza kutunda minzaani zitalina sitampu era UNBS y’erina okubateerako sitampu wabula kati tebamanyi wakuzitwala.
Bagasseeko nti ebbanga lye bamaze nga tebakyakola kibafiiriza nnyo kuba balina okusasula lenti kyokka nga tebakyasobola na kutuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe olw’okumala ebbanga nga tebakyakola nga n’abamu ku bo balina amabanja mu bbanka ge balina okusasula.
“UNBS bw’eba nga y’evunaanyizibwa ku kwekebejja mutindo gw’ebintu mu ggwanga naye ate balina kujukiza nzijukize obuvunanyizibwa bwayo bagenda kutangira batya ebintu ebitali bya mutindo okugenda ku katale?.” Abasubuzi bwe baategeezeza.
Omwogezi w’ekitongole kya UNBS, Sylvia Kirabo yategeezeza nti baafunamu okutaataaganyizibwa nga ekitongole nga obuzibu obwo babumanyiiko era nti baaufuba okulaba nga babugonjoola mu bbanga eritali lya wala n’ategeeza nti mu bbanga lino abasuubuzi basobola okutunda minzaani okutuusa lwe banaagonjola ekizibu.