Amawulire

Abasuubuzi 25 bafiiridde mu kabenje.

Abasuubuzi 25 bebakafa mu ggwanga lya Nigeria mu ssaza lye Niger oluvanyuma lwa tuleera okulemererwa ddereeva, neyingirira ekkubo eddala.

Tuleera yabadde egenda mu bitundu bye Lagos ne Sokoto nga kuliko abasuubuzi n’ebintu, ekiro ky’olunnaku Olwokubiri.

Abasuubuzi abasukka 200 baakoseddwa era waliwo abali malwaliro okufuna obujanjabi.

Pulezidenti w’eggwanga Bola Tinubu avuddeyo ku mbeera y’akabenje era alagidde ekitongole ekya Poliisi okunoonyereza okuzuula ekyavuddeko akabenje.

Mungeri y’emu asuubizza nti Gavumenti egenda kuyamba abali malwaliro, okufuna obujanjabi, okusobola okutaasa obulamu.

Gavana w’essaza lye Niger Mohammed Bago alagidde Poliisi obuttakiriza tuleera yonna, okuddamu okutambuza abantu.

Ate mu ggwanga lya Congo-Brazzaville, ebitongole byokwerinda biri mu kunoonyereza ekyavuddeko abantu 31 okufa.

Abantu bafiiridde kanyigo nga bagezaako okuyingira ekisaawe, okwewandiisa okuyingira amaggye ku Mmande nga 20, November, 2023.

Abantu 145 baafunye ebisago ate 15 bakyali malwaliro.

Okunoonyereza kulaga nti Gavumenti yabadde erangiridde nga yetaaga abavubuka wakati w’emyaka 18 – 25 okuyingira amaggye era bazze bungi kuba bangi tebalina mirimu.

Mu ggwanga lya Congo-Brazzaville, abavubuka ebitundu 42 ku 100, tebalina mirimu.

Mu kiseera kino entekateeka z’okuwandiisa abantu okuyingira amaggye zonna zaayimiriziddwa.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top