Amawulire

Abasuubuzi abalina bu bizinensi obutonotono batikkidwa.

Enteekateeka y’okutikkira abasuubuzi abalina bu bizinensi obutonotono mu ggwanga kugenda mu maaso ku ofiisi z’ekitongole kya Stanbic Business Incubator e Kololo

Abasuubuzi bano abasoba mu 100 bamaze emyaka 2 nga batendekebwa mu bukodyo bw’okwetandikira bizinensi (naddala egy’obulimi n’obulambuzi) okusobola okugiddukanya n’okuziwangaaza okumala ekiseera mu ggwanga.

Mu birala bye batendekeddwa mulimu engeri y’okufunamu ssente z’okuyimirizaawo bizinensi zaabwe, obukodyo bw’okutumbula bizinensi zaabwe (nga bayita mu kubeera n’ebibinja ku mutimbagano oba websites), n’okukolagana obulungi n’ebitongole ebiyinza okubakwasizaako mu nkulaakulanya ya bizinensi zaabwe.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top