Amawulire

Abasuubuzi balaajanidde gavumenti olwa bbeeyi y’amafuta eyeekanamye

Abasuubuzi abakolera mu katale k’e Bugoloobi balaajanidde gavumenti ku bbeeyi y’amafuta eyeekanamye ensangi zino nga bagamba nti embeera mu kiseera kino ebakaluubiridde.

Kino kidiridde aba akisi okuvaayo wiiki ewedde ne balangiringa bwe bongezza ebisale by’entambula nga bagamba nti nabo bbeeyi y’amafuta eyeekanamye ebalemeredde.

Abasuubuzi mu katale k’e Bugoloobi nga bakulembeddwa Amyuka ssentebe w’akatale, Grace Nyesigire basinzidde mu kwogerako era nannamawulire enkya ya leero ne bategeeza nti ebisale by’entambula ebyekanamye bwe bituuse okubagoba mu bizinensi olw’ensonga nti emmaali gyebatunda bagiggya mu byalo wala.

Wano Nyesigire w’asabidde Gavumenti okubaako ky’ekolawo ku bbeeyi y’amafuta eyeekanamye kiyambeko abasuubuzi bomu butale obutafiirizibwa.

 

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top