Abasuubuzi balangiridde nga bwebagenda okuteekawo embeera gye bagambye nti mwebagenda okuyita beekalakaase balage obutali bumativu bwabwe eri gavumenti okutandika okupima ebintu byabwe bye basuubula okuva ebweru w’eggwanga nga bayita mu nkola ya kkiro kyebagambye nti eno enkola egendereddwamu kubanyigiriza n’okubalemesa obusuubuzi.
Bano nga bakulembeddwa omwogezi w’ekibiina kya KACITA Ssekitto Isa baasinzidde mu lukuŋŋaana lw’abamawulire lwe batuuzizza ku woofisi z’ekibiina kino mu Kampala omwetabiddwamu abasuubuzi ab’enjawulo ne bassa kimu nti bagenda kwekalakaasa nga bawakanya eky’okutandika okupima ebintu byabwe mu kkiro kyebagamba nti kya bbeeyi nnyo kubanga omusolo ogugenda okuggibwa ku bintu ebyo gusinga ssente ze basuubulamu ebintu bye batunda
Bagambye nti gavumenti etunule mu bulumi bwabwe bwebayitamu kubanga bamaze ebbanga nga tebakola kati ate bazzeemu okukola ate babataddeko akazito k’okubapimira mu kkiro ekintu ekigenda okubakosa kubanga abasuubuzi abasinga enkola eno tebagisobola kubanga yetobekeddemu emisolo emikakali nga bangi bafiiriddwa nnyo emmaali yaabwe ekyalemedde ku bitebe bya URA olw’okulemerwa okusasula omusolo.
Mu mbeera eno abasuubuzi basizza kimu bateekewo embeera mu Kampala bekalakaase kubanga eno embeera ebasusseeko olwo gavumenti bwe naabawulira ku nsonga gye baliko n’ebaddiramu ku musolo.
Lwegaba Moses omu ku baakikiridde ebibiina ebirala ebigatta abasuubuzi agambye nti ng’abakolera mu akeedi banyigirizibwa olw’abagagga abakyabakanda ssente za lenti mu myezi gye bataakola nga bali ku muggalo, ate kati gavumenti ereese omusolo gwa kkiro nga bino byonna bw’obigatta abasuubuzi bagenda kulemererwa okutwala obusuubuzi mu maaso kati baagala gavumenti ebayambe ebaddiremu baddeyo ku nkola enkadde gye babadde babapimira omusolo kubanga eno enkola empya egenda kutta obusuubuzi mu ggwanga.
Abalala basabye gavumenti nga tennaleeta nkola mpya esooke etuule n’abantu abakola omulimu ogwo bakkaanye ku ngeri gye baanagikwasaganyaamu so si kumala gagileeta ne bagiteeka ku bantu nga tebasoose kugisomesa okumalawo olutalo nga kati abasuubuzi lwe bagenda okusitula okuwakanya enkola eno kubanga tebagenda kukkiriza kubanyigiriza ate nga obusuubuzi bukyalina obubisoomooza ebiwerako.