Amawulire

Abataka abóbusolya bwébika by’Abaganda bakungubagidde Omutaka Lwomwa Daniel Bbosa

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll asiimye emirimu ejikolebwa ba Jaaja abataka abakulu ab’obusolya omuli nókutegeka omusomo gwÓbuwangwa nénnono gwebaategeka omwaka oguyise 2023.
Obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka bwanjuliddwa omukubiriza w’olukiiko lwábataka Omutaka Namwama Augustine Kizito mu lukiiko olwénjawulo olwa bajjaja abataka abakulu ab’obusolya olutudde okukungubagira omubuze Omukulu w’ekika kye Ndiga Omutaka Lwomwa Eng. Daniel Bossa eyakubiddwa amasasi.
Olukiiko luno lukubiriziddwa omukubiriza w’olukiko lwÁbataka Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba.
Abataka bonna bazze bambadde ekkanzu enjeru nga tebambaliddeeko kooti, ngákabonero akalaga okunyolwa.
Mu lukiiko luno basiimye emirimu Lwomwa Daniel Bbosa gyákoledde ekika ky’Endika, Obuganda, néggwanga lyonna.
Lwomwa Bbosa yeyaleeta ekiteeso kyábataka okutandikawo emisomo gyóbuwangwa, abadde avujjirira enteekateeka zémizannyo gyÉbika byÁbaganda, era ngábadde avujjirira entuula zÁbataka ezénjawulo. Olukiiko lw’Abataka luvumiridde ebikolwa ebyéttemu ebigenda mu maaso mu ggwanga, ebyaviiriddeko mutaka munabwe Lwomwa okukubwa amasasi.
Olukiiko luyisizza ebiteeso ebyenjawulo omubadde; okuvumirira ebikolwa eby’ettemu mu ggwanga,okuteekawo akakiiko kábataja akeetengeredde kanoonyereze ku ttemu eryakoleddwa ku mubuze Eng. Daniel Boss omukulu w’ekika kye Ndiga.
Bayisizza ekiteeso okyókugema ettemu eri ba Jajja abataka , abazukkulu nebanna Uganda okutwaliza awamu nga bayita mu nkola eyénnono n’obuwangwa ebya Buganda.

Olukiiko era luyisizza ekiteEso ekyókusiima muzukkulu wabwe Abdul Katabaazi eyakoze omulimu ogw’amaanyi okukwata abatemu abaatemudde Omutaka, era basazeewo nókugenda mu maka g’omubuze okubuuza ku bóluganda. Eyaliko omukubiriza wélukiiko lwábataka Omukulu we kika kye Mbogo Omutaka Kayiira Gajjuule Kasibante Fredrick ngóno yeyasooka okuweereza n’omubuze, abuulidde olukiiko nti omubuze abadde musajja ow’embavu era atatiirira Nnamulondo, era nga yoomu kubaaleeta ekiteeso eky’okutandikawo omusomo gwénnono eri abazukkulu. Omutaka Kayita akulira ekika ky’e Nvubu Kayita Musoke Makaabugo ategezezza olukiiko nti bukyanga Obwakabaka buddizibwawo mu 1993 abataka 25 bebaakafa, era naasaba omukubiriza wólukiiko nebawaayo akadde okusabira emyoyo gy’abaafa.
Bakatikkiro b’ebika basabye olukiiko lwábataka okubateeka ku bantu abakuuma omu ku batemu apooceza mu ddwaliro nga bamulondoola mu mpalo, okutuusa ngáteredde era ngáwaddeyo obujulizi bwonna.
Alipoota eyasoose okufulumizibwa yategeezezza nti abatemu kuliko Enock Sserunkuuma omutuuze we Lungujja eyafiriddewo oluvanyuma lw’a bantu okugoba boda boda kwebabadde baddukira nga bamazze okukola obutemu nebamukuba, ne Noah Luggya eyawonyewo nga kati afuna bujjanjabi mu ddwaliro ekkulu e Mulago.
Omutaka Daniel Bbosa yattiddwa kumpi n’amakage agasangibwa e Lungujja mu division ye Lubaga mu Kampala.
Abazigu abaabadde batambulira ku bodaboda baamusasiridde amasasi mu mmotoka mweyabadde atambulira namba UAH 637X negamuttirawo, mu mmotoka yabaddemu ne mukyala we n’omuyambi we waka.
Omutaka Daniel Bbosa yabadde ava ku mukolo gw’essiga lya Ssekoba e Katosi Mukono nga 25 February,2025.
Lwomwa Eng.Daniel Bbosa yabadde nnyini kampuni y’eby’amasannyalaze eya Transa and Bbosa Electrical company.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top