Amawulire

Abatamivu bubakeredde, Nambooze akomyawo tteka

Abatamivu bubakeredde, Nambooze akomyawo tteka

Omubaka wa monicipaali ye mukono Betty Nambooze Bakireke ategezezza nga bwagenda okuzza ekiteeso ky’omwenge mu palamenti, n’ekigendererwa ekyokukendeeza kubudde abantu bwe bannyweereko omwenge.

Nambooze okwogera bino abadde ku kitebe kya disitulikiti ye mukono ku mukolo gwe yategese okugemesa okwekikungu mwe yafunidde doozi ye eya covid-19 esooka awamu n’aba famile ye, abakozi n’abantu abalala.

Okusooka, Nambooze yasinziira ku kitebe Kya NUP e mukono n’ategeeza abamawulire nga ye bwatasobola kukirizza kugemebwa era n’ategeeza nga bwatesiga ddagala lya covid-19, kyokka bwe yabadde agenda okugemebwa yategezezza nga ye bwatasobola kujemera kiragiro Kya Kabaka eyakunga abantu be okwegemesa.

“Ssisobola kujemera Kabaka ng’alagiddd kuba yalondebwa nga ambasada w’okulwanyisa mukenenya, kati bwavaayo n’atukunga okwegemesa ku covid-19, nze ani Agana omulanga gwa Kabaka” bwatyo Nambooze bwe yayongeddeko.

Ono Yagambye nti okunonyereza okukoleddwa kulaga nga Uganda ekwata Kya 2 mu mawanga agasinga okunywa omwenge, ng’abantu tebaliiko budde kwe banyweera, kwe kusalawo okukomyaawo ekiteeso ky’omwenge, era essawa yonna agenda kukyanjula mu palamenti.

Ono era yalumbye omwogezi wa gavumenti Ofono Opondo n’agamba nti etteeka eryo lyayagala okuleeta, ayagala okumuyamba kuba bwatamiira akemebwa n’atandika okubba obuntu obutaliimu omuli pen n’obuwale bwomunda, nga singa etteeka lino liyisibwa, ajjakuba amuyambye.

“Okusooka n’afuna okunyigirizibwa n’ekiteeso ekyo nga gavumenti egamba nti efuna omusolo mungi okuva mumakampuni agakola omwenge, kyokka Kati musanyufu okuba omwenge gw’omubuveera gwo gwavaawo, naye abantu Bali bayitirizza okutambula n’amabaala munsawo” bwatyo Nambooze bwe yategezezza.

Yagambye nti okuva abantu abatamwagala bwe bamuteera obutwa mu mwenge n’ayisibwa bubi nnyo, okuva olwo, yasalawo okuviira ddala kumwenge, bwatyo n’asaba ne meeya we Erisa Mukasa  Nkoyoyo okukendeeza ku mwenge.

Ku mukolo guno, abantu abasoba mu 200 bafunye doozi yabwe esooko eya covid-19.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top