Amawulire

Abatuuze bakukulumidde KCCA kuby’omwala gwa Nsooba Kyebando.

 

Abatuuze bakukulumidde KCCA okulwawo okukola omwala oguyita mu kitundu kyabwe ekiyinza okuwa abafere omwagaanya ne baddamu okutunda poloti ezaasasulwa

Omwala guno guyitibwa Nsooba Kyebando Channel era guyita mu lufula y’oku Kaleerwe ne guyiiwa ku gwa Lubiji.

Abatuuze abaali baguliraanye KCCA yabasasula gye buvuddeko abamu ne basengukawo ate abalala bakyaliwo nga balinda kumala kulaba ttulakita nga zisenda balyoke baveewo wabula  waliwo n’abagamba nti tebannasasulwa.

Hussein Ssemakadde, yategeezezza nti omwala gwafuuka mpuku ya babbi, ebisolo mwe bibeera nga buli nkuba lw’etonnya mukoka ne bw’aba mutono, ayanjaalira mu mayumba gaabwe olw’ensonga nti gumaze ebbanga nga tegugogolwa.

Yagasseeko nti okusinziira ku mbeera omwala gye gulimu, tosobola  kugwawula ku poloti za bantu era abafere wano we basinziira okubbirako abantu ne babaguza poloti  ku kitundu ky’omwala nga KCCA erina okuvaayo nga bukyali baguzimbe .

Emmanuel Sserunjogi mmeeya w’e Kawempe yagambye nti  Kawempe alimu emyala eminene okuli ogwa Katanga , Nakamiro , Nsooba Kyebando , Kiyanja n’emirala nga ogwa Nsooba Kyebando gwogerwako nti gugenda kukolebwa omwaka guno kuba babadde bakyamaliriza ogwa Nakamiro.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top