Abatuuze ku kyalo Nalyamagonja mu Kasangati Town Council bakedde kwekalakaasa okw’emirembe nga balaga obutali bumativu olw’omugaga ategeerekese nga Kivumbi okukoonakoona oluzzi lwabwe.
Ssentebe w’ekyalo kino, Wafula Andrew atuuzizza olukiiko okulaba ekiddako nga lwetabiddwaamu abatuuze ne DPC w’e Kasangati, Adam Kakayire.
Abatuuze olunwe baalusonze mu Ssentebe waabwe nti yandibeera mu lukwe lw’okutunda oluzzi lwabwe kyokka bino ye abyegaanyi n’ategeeza nti naye ennaku bbiri emabega abadde ku poliisi e Kawempe gye baamuggalidde ku nsonga ze zimu.
Ssentebe Wafula annyonnyodde ebikwata ku luzzi luno n’ategeeza nti naye ali mu kulwanirira abatuuze..
Abatuuze ababadde abanyiivu balombojjedde DPC obulumi bwe balina ne bamutegeeza nti baagala oluzzi lwabwe era omugagga yalusangawo nga lulina n’ekyapa.
Kakayire DPC w’e Kasangati agumizza abatuuze nti agenda kukola okunoonyereza okulaba ng’abatuuze bafuna ekituufu.
DPC agambye nti ayogedde n’omugagga eyasenze oluzzi n’amutegeeza nti ye yagula ettaka nga tekuli luzzi era teyeetaaga batuuze kuddamu kusaalimbira ku ttaka lye.
Oluvannyuma abatuuze nga bakulembeddwaamu Mmeeya w’e Kasangati beesonzeemu ssente ne bagula amayinja, omusenyu n’ebikozesebwa ebirala ne batandika okuddamu okuzimba omudumu ogwabadde ogwonooneddwa.
Omugagga yasooka kuzimba kikomera ku luzzi luno naye abatuuze baasigala bawaguza.
Meeya Muwonge asabye abagagga okuba n’obuntu bulamu mu buli kye bakola n’avumirira abo bonna abakozesa ensimbi okutulugunya abalala n’akakasa nga bwe bagenda okuggulawo ekkubo lino kubanga omugagga yalizimbawo mu bukyamu.