Abatuuze ku kyalo Ttakajjunge ku nsalo eyawula ekibuga Mukono ne ggombolola ye Nama bavudde mu mbeera ne bakwata abavubuka babiri abateberezebwa okubeera ababbi bebakumyeko omuliro ne basaanawo.
Kigambibwa nti bano babadde bana kyokka ng’ababiri badduse wabula ng’abattiddwa emirambo gyabwe gisangiddwa ku kkubo wakati mu kikoomi ate ku mabbali w’emirambo waliwo ekikutiya kya matooke nge bagamba nti bagabbye.
Abatuuze bagamba nti bakooye ababbi era nga tewali agenda kutwala mubbi yenna ku poliisi,era waliwo omutuuze ategeezezza nga bwebamubako pikipiki ye mu mwezi gumu nga yakagifuna kyebagamba nti kibazizz annyo emabega. Abatuuze bategezezza ng’obubbi bwe mmere, ebisolo ssaako n’okubayigirira mu mayumba bwe byeyongedde ennyo mu kitundu kyabwe ng’abazigu kati bakozesa zi Master keys, okutwala number plate zaabwe nga kati bagenda kusula bweru okukuma ebintu byabwe.
Ye atwala ebyokwerinda mu kitundu kino Ssaalongo Waswa Kizito obuzibu abutadde ku bavubuka abataagala kukola yadde bafuniddwa emilimu, Ono era agamba nti olw’embeera y’obubbi okweyongera ne poliisi eby’okukwata abo abatta ababbi yabivaako.