Abatuuze b’e kagoma-Maganjo mu munisipaali y’e Nansana balajaana olwa kasasiro ayitiridde mu kitundu. embeera eno abatuuze bagitadde ku Munisipaali etabateereddewo bifo bitongole mwe balina okuyiwa kasasiro ne basalawo okubituuma ku mabbali g’amakubo. Godfrey Kambugu, Ssentebe wa LC1 owa Maganjo A agamba nti abatuuze baagala kwesondamu ssente okusasulira kasasiro ne basalawo ne basalawo okunoonya ebimotoka okusomba, “ssentebe bweyagambye. Embeera eno ereetedde abantu okutandika okusuula kasasiro mu makubo nga kwotadde ne mu maka ng’abantu abalala mu kugezaako okumweggyako nga bamusomba ne bamusaasaanya naddala ekiro. Musa Galiwongo kansala akiikirira Maganjo agamba kyetaagisa okusomesa abatuuze engeri gye bayina okukuuma kasasiro mu kitundu n’okusonda ku ssente ze basobola okukozesa okutambuza kasasiro.