Amawulire

Abatuuze B’entaawo Bassattira Olw’akabira Akafuuse Akattiro

Abatuuze B’entaawo Bassattira Olw'akabira Akafuuse Akattiro

Abatuuze n’abakulembeze ku kyalo Ntaawo ekisangibwa mu Ggombolola Ggoma  munisupaali ye’ Mukono bali mu kusasttira olwa akabira akali kukubo  eligenta ku kitongole kya NARO  Akafuse akattiro  nga ababbi nabatemu bakekwekamu  mumatumbi  budde  omwekweeka abatemu  ne batulugunya abantu ku kyalo omuli okubabba n’okubasalira ebisolo.

Ssentebe w’ekitundu kino John Ronald Ssebunnya yanyonyodde obulabe bw’ekifo kino olw’enfunda  eziwera abakyala bwe bazze batuusibwaako ogw’obuliisaamaanyi mu katundu kano,aba bodaboda abasoba mu basatu abazze bakubwa obubi ennyo ne basigalako kikuba mikono ne babbako pikipiki zaabwe.

Andrew Kisaama omutuuze ku kitundu kino okusimattuka kwe akunyumya nga lutabaalo bwe yasanga ababbi bano ku nkomerero ya wiiki ewedde nga balina emmundu bbiri, ne baatega emotoka ye ku ssaawa bbiri ez’akawungeezi ne bagyaabya emipiira n’endabirwaamu  era ne bamulagira okugifuluma nga bwe bamuwereekereza emiggo.

“Nabasanga balina gwe beebasizza wakati mu luguudo nga ssirina wakuyita ne banfulumya era ne bandagira okwebaka wansi,baatandika okunjaza ne banzibako emitwalo 800,000 n’essimu ssatu nga bwe bantiisaatisa okunkuba amasasi,amangu ago bangamba okubawa ekisumuluzo ky’emotoka ne bandagira okudduka nga ssitunula mabega era oluvanyuma ne basimbula emotoka yange ne bagitwaala.”kisaama bwe yagambye.

Richard Sibomaana nga ono naye yali kasimatuka okutemulwa mukifo kino  eyanyonyodde ng’omu ku babbi bano bwe yamuyimiriza n’emundu n’alowooza nti yali muserikale era ng’ekyaddirira kwaali kuwulira muggo ku mutwe emabega n’abalala ne bafubutuka gye baali beekweese ne batandika okumukuba we basanze.

“Yingini ya pikipiki yaliko kyokka eky’ennaku nti omu ku bankuba gwe neetegereza obulungi nga tuvuga naye pikipiki ku siteegi, namuwawaabira enkeera era n’akwatibwa kyokka wayita ennaku ssatu ne bamuta era kati ayinaayina aneewerera okuddamu okunkuba, poliisi tugiropedde enfunda eziwera naye tebatuyambye.”Sibomaana bwe yanyonyodde.

Ssentebe Ssebunnya yalabudde abatuuze be okwewala okutambula obudde bw’ekiro n’anyonyola n’obumu ku bukodyo bwe  balina okwegendereza ababbi bano bwe bakozesa omuli okugwa eky’obugazi ku kkubo nga beefudde abatuusidwaako obuzibu,okukozesa emmundu okubatisatiisa, okubateega emiguwa n’obukodyo obulala obw’enjawulo.

Ono Yasabye abakwatibwako ku nsonga eno okubafunira ebitaala bissibwe mu kifo kino n’ab’ebyokwerinda okufuba okulaba nga babongera obukuumi.

Yasabye n’okubafunira poliisi eteekebwe mu kitundu kino,n’asaba ba nanyini kifo kino ab’ettendekero lya UCU okugyawo akabira kano okwewala embeera ey’obunkenke eri mu batuuze be.

ABANTU ABENJAWULO BALIKO BYE BOGEDE KU KABIRA KANO.

Richard Sibomaana.Poliisi tugiraajanidde enfunda eziwera ku kifo kino naye tebatufuddeeko, n’abantu  abatubba babakwaata ennaku mbale nga babata kyokka ne badda era ku kyalo ne batutulugunya tusaba okuyambibwa ku nsonga eno.

Henry Musoke.Ekitundu kin tumaze ebbanga ddene nga tulina obubbi naye tetubadde na ba mmundu era bututadde ku bunkeneke,kati twebuuza akabira kano kanangyibwaawo ddi  era emmundu ababbi ze bakozesa bazigya wa? Ensonga eno yetaaga okubuulirizaako.

Robert Ssozi .Ekifo ekyo kya bulabe kyandibadde kisaanyizibwawo nga tebannattirawo muntu yenna,General Nalweyiso asula ku kitundu ekyo yandibadde akwatagana n’abakakiiko okulaba bwe bassaawo ebitaala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top