Amawulire

Abawala 3 ababadde bava okusoma bagudde mu nnyanja.

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kizinga kye Namiti mu town council ye Lubya mu bizinga bye  Buvuma,  abavubuka abawala basatu ababadda bava okusoma eby’emikono ku kizinga kye Lubya  bagudde mu nnyanja.

Abavubuka bano babadde batendekebwa ekitongole kya Uganda Health and Development Associates.

Babadde basaabazibwa buli lunaku okuva e Namiti  okugenda ku kizinga kye Lubya okusoma era mulyaato mwabadde lubaddemu abavubuka abakunukiriza mu 20.

Okusinzira ku batuuze nga bakulembedwamu Opondo Fred Onduri ssentebe wa town council, eryato mwebabadde basaabalira litandise mpola okuyingiza amazzi nga bali mu bwengula bwe nnyanja, okukakkana nga libbidde neribayiwa mu nnyanja, 3 tebalutonze.

Omuduumizi wa police mu biziinga bye Buvuma sp Bagoole Micheal agambye nti baliko abakulira ekitongole ekibatendeka abakwatiddwa bayambeko mu kunoonyereza.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top