Omuliro gukutte ekisulo kya bayizi ku Kasaana Junior School mu Nyendo,Mukungwe, Masaka mu kiro ekikeesezza olwaleero.
Kigambibwa nti abayizi abasoba mu 13 baggyiriddemu ate 2 bafudde.
Kigambibwa nti omuliro guno gwakutte mu kiro ekikeesezza leero era kigambibwa nti abayizi 2 be bafiiridde mu muliro guno.
Mu kiseera kino abayizi abafunye ebisago baddusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Masaka okufuna obujjanjabi.
