Amawulire

Abayizi abazzeeyo okusoma e Mukono batono ddala.

Omuwendo gw’abayizi abazzeeyo mu masomero ag’enjawulo mu kibuga Mukono mutono ddala nga n’ebibiina ebimu  bikalu, wabula nga kino ab’amasomero bakitadde ku mbeera ya byafuna, ssaako n’embeera y’obudde.

Ku ssomero lya Ngandu Community Primary School nga lino lirina abayizi 170 eno tusanzeeyo abayizi  20 gokka nga n’ebibiina ebimu bibadde bikalu.

Harriet Nabisubi, akulira essomero lino agamba nti omuwendo guno guvudde ku mbeera ya budde ng’asuubira nti wiiki weneegwerako abayizi bajja kuba  baweze. Ate ku nsonga y’okwogeza ebisale by’essomero agamba nti si baakukikola kuba abazadde baabwe bamufunampola nga balina kusooka kutuula nabo bateese.

Ku ssomero lya JessyJonny Day and Boarding PS ku bayizi 620 abayizi 200 bokka be babadde bakalabikako ku ssomero.

Okusinziira ku mukulu w’essomero, Godfery Bwambye Kigongo embeera y’ebyefuna eri mu ggwanga y’evuddeko kino, ng’abamu ku bazadde basazeewo okukomyawo abayizi bangi  nga tebasasudde fiizi ate abalala nga n’ebyetaago  nabyo baleese bya kitundu .

Ku nsonga y’okwongeza ebisale agamba nti bo ng’ abali  mu masomero ng’obwannanyini embeera ebanyigiriza nnyo olw’emiwendo y’ ebintu ng’ate balina ebyetaago bingi ssaako ate nga baagala okuweereza abazadde, nga kye balina okukola kwe kwogeza ku bisale okusobola okutambuza emirimu obulungi era wano wasabidde gavumenti okuvaayo ebakwatizeeko.

Ku ssomero lya Mukono Boarding Primary School, ku bayizi 800 abayizi 300 bokka be babadde baakalabikako ku ssomero era okusinziira ku mukulu w’essomero era ssentebe w’abakulu b’amasomero ga gavumenti ssaako n’Agobulabirizi bw’e Mukono,  Suzan Wamala Sserunkuma  kino ekitadde ku mugotteko gw’ebidduka ssaako n’embeera y’obudde.

Beatrice Byarugaba Land, owa OceanField Preparatory School Ttakkajjunge agamba nti embeera ebanyigiriza kyokka ng’abazadde baagala ekirungi nga tebalina we bagenda kwewala kwogeza fiizi kuba n’ebintu biri waggulu nnyo nga kati ensawo y’akawunga eri mitwalo 120,0000, kyokka nga n’olusoma luwanvu nnyo nga lwaki wiiki 14 nze nnaku 63, kyagambye nti bandimaliriza nga basomesezaako  wiiki mwenda oba kkumi olw’obusobozi.

Ono olusoma oluwedde yalina abayizi 180 kyokka olwaleero wabaddeyo abayizi batono ddala.

 

 

 

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top