Mu masomero getutuuseemu e Kalangala abayizi tebajumbidde nga ku ssomero lya Kibanga Primary School abayizi 100 bokka bebalabiseeko ku bayizi 867, ku ssomero lya Bumanji abaana 20 be batandise ku 365, Buswa Primary School 15 bokka be balabiseeko ku 180 saako n’amasomero amalala nga embeera yakimpowooze nnyo.
Kino kyeraliikiriza abakulu b’amasomero ne basaba abazadde obutasooka kulowooza ku kumalayo byetaago byonna wabula bawe abaana ebitabo n’ebyokuwandiisa olwo ebirala banaabireeta oluvannyuma.
“Engatto ne yunifomu si bikulu mu kusoma kw’omwana wabula bwabeera n’ekyawandiikamu saako okufuna eky’okulya ku ssomero kijja kumala nga bwe tugumikiriza abazadde mpolampola,” Lwera Lawrence owa Bridge of Hope bwategezezza.
Abakulu b’amasomero era bategeezezza nti abasomesa bbo beetegefu okugenda mu maaso n’omulimu gwabwe eri abo abayizi abasobodde okujja mu kuggulawo olusoma olusooka.
Twogeddeko n’abamu ku bazadde ne batutegeeza nti ensimbi zibeekubya mpi kyokka nga ebikozesebwa by’abaana byabuseera naddala ku maduuka nga kyekireetedde abaana obutatandikirawo kusoma.