Amawulire

Abazigu basibye omukuumi akandooya ne banyaga obukadde bwa ssente.

Abazigu abatannategeerekeka ababadde n’emmundu, balumbye ekibanda kya zzaala  e Nateete ne basiba omukuumi ku miguwa ne bamenya oluggi ne bayingira ne banyaga bukadde.

Bino bibaddewo mu kiro ekikeesezza Ssande, abazigu bwe balumbye ekibanda kya Fortbet ekisangibwa mu zzooni ya Nateete Central C.

Baasibye Samson Etyanga emiguwa ne bamukuba ekibaawo ku mutwe olwo ne bakuba oluggi lw’endabirwamu ejjinja ne lwatika ne bayingira.

Baamenye ebyuma omubeera ssente ne bakuliita n’obukadde obusoba mu 2 ezibadde zaasuzeemu omukuumi ne bamuleka ku miguwa ne bagenda.

Poliisi y’e Nateete ekedde kujja mu kifo okwekenneenya  engeri obulumbaganyi buno gye bwakoleddwamu, ne bategeeza nti omuyiggo ku baakoze ekikolwa kino gugenda mu maaso.

Ye Etyanga omukuumi yagambye nti ku ssaawa nga 9:00 ez’ekiro nga yeebaseemu wabweru yagenze okuwulira nga bamukuba ekintu eky’amaanyi ku mutwe n’asooka awunga, awo abasajja abaabadde babiri nga bakutte emmundu kwe kumusiba emiguwa emikono.

Agamba yagezezzaako okuleekaana ng’asuubira nti bakuumi banne,  abakuuma bbanka  eri wansi ku kizimbe banaamutaasa nti naye tekyasobose.

Ayongerako nti abazigu baakozesezza ejjinja eddene erimu ku gaakozesa ng’akuuma ne bakuba oluggi.

Okusinziira ku ye, bwe baamusindise baagenze buteereve ku kyuma we baabadde baagala ne bakimenya ne bamala okuggyamu ssente ne bagenda, agamba abazigu bano baabadde 4 ng’abamu baasigadde wansi, ababiri baalinnye waggulu ku mwaliro ogusooka awali ekibanda w’akuuma ne banyaga.

Esther Banenya, maneja w’ekifo kya zzaala yagambye nti babanyazeeko ssente ezisoba mu bukadde 2 n’emitwalo 80 ezaasuze mu byuma.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top